Bya Nalule Aminah

Poliisi y’e Kabalagala ekutte 10 mu kikwekweeto ekyakoleddwa okukwata abantu abagufudde omuze okunyakula amassimu g’abantu ku luguudo lwe Ggaba n’okusingira ddala mu kitundu ekyakazibwako ku mwala oba mu Kalitunsi ng’osemberedde okuyingira mu katawuni k’oku Soya.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, mu kikwekweeto Poliisi yakutte abantu 10 nga kuliko abakyala babiri (2) era baasangiddwa n’amasimu 25 ateeberezebwa okuba amabbe, pikipiki emu, ensawo z’abakyala, amajjambiya ssaako n’emmundu engigirire.

Mungeri y’emu agambye nti abakwate baludde nga bateega abantu mu kkubo mu kiseera ky’okudda awaka akawungeezi ne banyukula amassimu kw’abo abali mu mmotoka ssaako n’ensawo z’abakyala ne baddukira mu kabira akali ku soya.

Poliisi egamba nti abakwate abali ku Poliisi y’e Kabalagala era essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti ku misango gy’okubba era kitegerekese nti ababbi, baali bazimba akayumba mu kabira akali ku soya gye bakweka ebinyakuddwa ku bantu nga n’abakulembeze ku kyalo ebakimanyi.