Bya Nalule Aminah

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bisolo by’omu nsiko mu ggwanga ekya Uganda wildlife Authority kikutte abantu mwenda (9) mu kikwekweeto ekyakoleddwa okulwanyisa abantu abegumbulidde okutta ebisolo by’omu nsiko.

Ekikwekweeto kyegatiddwako Poliisi ssaako n’ekitongole ky’amaggye ga UPDF era abakwattiddwa bali ku misango gy’okutta ensolo omuli enjovu ne batunda amasanga, okutta ebisolo ne batwala amaliba ssaako n’okusangibwa n’emmundu mu ngeri emenya amateeka.

Okusinzira ku mwogezi w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bisolo by’omu nsiko Bash Hangi abamu ku bakwate baafuna emmundu mateeka kyokka nga layisinsi zagwako dda.

Mungeri y’emu agambye nti abakwate nga bakulembeddwamu Kibuuka Samuel batta omukesi waabwe Edward Ssekyanzi nga baamukuba amasasi omwaka oguwedde ogwa 2019 omulambo ne baguziika.

Hangi agamba nti mu kunoonyereza, abakwate baatutte Poliisi webaaziika Ssekyanzi era omulambo ne gugibwayo.

Kigambibwa nti newankubadde abakwate bali ku misango gy’akutta nsolo z’omu nsiko kyokka kiteeberezebwa nti beenyigira mu kutta abantu nga beyambisa emmundu zebalina mu ngeri emenya amateeka era y’emu ku nsonga lwaki Poliisi n’amaggye benyigidde mu kikwekweeto.