Kyaddaki omuyimbi Cinderella Sanyu amanyikiddwa nga Cindy alaze nti omusajja ali ku mutima gwe era ye musajja yekka alina omukisa mu kiseera kino okumuwa omukwano.

Cindy agamba nti alina emyaka 34 mbu yazaalibwa nga 28, August, 1985 kyokka bwe yabadde mu kifo ekimu ekisanyukirwamu, Omuzannyi wa firimu Joel Okuyo Atiku yamusabye obufumbo.

Abamu ku mikwano gya Cindy batuwadde ezimu ku nsonga lwaki Cindy ali mu laavu ne Atiku.

1 – Talenti. Atiku musajja alina talenti kuba y’omu mu Uganda abazannya firimu era alabikidde mu firimu ez’enjawulo omuli The Mercy of the Jungle’, ‘The Bad Mexican’, ‘November Tear’, ‘Battle of the Souls’, ‘I am Slave’, ‘Kony: Order from Above’ ne Queen of Katwe.

2 – Musajja Muyivu. Bba wa Cindy Atiku y’omu ku basomesa ku yunivasite ya Uganda Christian University (UCU) era yasoma Social Work and Social Administration ku yunivasite y’e Mukono ne Makerere.

3 – Alina ku ssente! Atiku y’omu ku basajja alina ku ssente okuva mu talenti y’okuzannya firimu n’okusomesa. Tali mu mbeera mbi era Cindy yafunye omusajja agenda okumuyambako okwongera okutumbula talenti ye mu mbeera yonna.

4 – Muntu w’abantu ate ategeera Omukwano! Mikwano gya Cindy gigamba nti Atiku alina empisa ennungi, ayagala abantu ate bambi alina omukwano eri mukyala we Cindy. Mungeri y’emu bagamba nti Atiku wadde musajja wa kkamera nnyo, akweka ebyama kuba ye ne Cindy baludde nga bali mu laavu mu nkukutu okutuusa omusajja bwe yasabye Cindy obufumbo mu lujjudde.

Atiku yazaalibwa nga 3, December, 1983, alina emyaka 36, bazadde be ye Yena Drakuru ne Gabriel Francis Atiku era awangudde ‘Award’ ez’enjawulo omuli Africa Movie Academy Award for Best Actor in a Supporting Role n’endala.

Vidiyo ya Cindy ku Instagram