Kyaddaki Omuyimbi Eddy Kenzo naye awagidde ekya Gavumenti okuyimirizza ekivvulu mu ggwanga olw’ekirwadde kya Covid-19 ekisaasaanyizibwa akawuka aka Corona.

Olunnaku olw’eggulo, Pulezidenti w’eggwanga lino yayimirizza ebivvulu byonna mu ggwanga okumala ennaku 32, okusobola okwetangira obulwadde.

Kenzo abadde alina ekivvulu nga 28, March, 2020 e Kololo ‘Eddy Kenzo Festival’ kyokka naye yakoseddwa kuba ekivvulu kyayimiriziddwa.

Wabula asobodde okweyambisa omukutu ogwa ‘Twitter’ okusiima ekiragiro kya Pulezidenti Museveni era agambye nti obulamu bwe businga byonna.

Kenzo asuubizza okutegeeza abawagizi be ekiddako singa afuna olunnaku lw’ekivvulu olulala.