Jennifer Full Figure atabukidde munnamawulire Douglas Lwanga okuvaayo okwemulugunya olwa Gavumenti okuyimiriza ebivvulu okumala ennaku 32 okusobola okulwanyisa ekirwadde ki Covid-19 ekisasanyizibwa akawuka ka Corona virus.

Douglas abadde alina ekivvulu kya purple party ku Easter Monday e Mbale nga 13, April, 2020 kyokka kyayimiriziddwa oluvanyuma lw’okusasaanya ssente mu kulanga.

Wabula Full Figure atabukidde Douglas okugamba nti yafiiriddwa nnyo ssente kyokka ng’abayimbi bayimbira bwereere mu kivvulu kya purple party.
Full Figure agamba nti buli munnayuganda yafiiriddwa nnyo kuba ne kkampuni z’ennyonyi zayimiridde, Kampuni ezikamula eby’okunywa omuli eza Nile Bureau zayimiridde, ekiraga nti buli muntu yafiiriddwa nnyo ssente.

Mungeri y’emu atabukidde abayimbi abagamba nti Pulezidenti Museveni alina okubaddiza ssente zaabwe zebafiriddwa oluvanyuma lw’okusazaamu ebivvulu byabwe.
Full Figure agamba nti abategesi b’ebivvulu omuli bey Musinguzi (Abtex) ne Ssaalongo Andrew Mukasa (Bbajjo) ssente bazimalira mu kulya mbizzi era balina okukomya okuwudiisa bannayuganda.

Ebigambo bya Full Figure biraga nti abayimbi balina okukomya okulowooza nti bantu banjawulo nnyo ku bannayuganda bonna.

Vidiyo