Kyaddaki Uganda efunye omulwadde wa Covid-19, ekirwadde ekisasanyizibwa akawuka ka Corona virus asoose.
Okusinzira ku minisita w’ebyobulamu mu ggwanga, Dr. Jane Ruth Aceng, omusajja omulwadde munnayuganda myaka 36 nga mutuuze we Kakungulu e Kibuli.
Omusajja yavudde mu Uganda nga 17, March, 2020 okugenda mu kibuga Dubai okusuubula era yakomyewo mu Uganda olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga ku makya nga 21, March, 2020 mu nnyonyi ya Ethiopian Airlines.

Minisita Aceng agamba nti omusajja yakomyewo ng’alina omusujja (ebbugumu ly’omubiri 38) era okumwekebejja kyazuuliddwa nti alina Covid-19.
Mu kiseera kino omusajja omulwadde ali mu ddwaaliro erya Entebbe Grade B.
Minisita agumizza bannayuganda nti n’abantu bonna abaabadde ku nnyonyi ya Ethiopian Airlines n’omulwadde bali mu mikono gyabwe era okubekebejja kugenda mu maaso.