Omuyimbi Eddy Kenzo y’omu ku bannayuganda abali mu maziga olwa Gavumenti okumulemesa okudda mu Uganda.
Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yaggadde ensalo zonna eziyingira Uganda n’ennyonyi zonna ezitambuza abantu okuva mu nsi z’ebweru zaayimiriziddwa olw’okutangira abantu okuyingiza mu Uganda ekirwadde ki Covid-19 ekisasanyizibwa akawuka ka Corona virus.
Gavumenti yaggadde ensalo okumala ennaku 32 era Pulezidenti Museveni yalagidde amaggye okunyweza ebyokwerinda ku buli nsalo okulemesa abantu okufuluma n’okuyingira Uganda.
Ensalo okuggalwawo n’okulemesa ennyonyi zonna ezitambuza abantu okuyingira Uganda, kabonero akalaga nti Kenzo talina mukisa gwonna kudda mu Uganda okuva mu Abidjan, cote d’ivoire ne bannayuganda abalala abali mu nsi z’ebweru.
Kenzo asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book okugamba nti, “ekitegeeza sikirizibwa kudda waka” era mu Lungereza agambye nti “So I’m not allowed to come back home‘.
Wadde Kenzo alina obusoobozi, Gavumenti okuggala ensalo, kitegeeza tasobola kudda era alina okulinda ennaku 32 ezalangiriddwa Pulezidenti Museveni.
Ku nsonga ya Kenzo okuba nga mu kiseera kino talina mukisa gwonna kudda mu Uganda, bannayuganda abamu bamutabukidde ate abalala bamusasidde.

