Nga bannansi bali mu kutya olwa ssenyiga we China Covid-19, nate wuuno omusajja asse eyali mukyala we.
Mutegeeya Abdulla Musa mutuuze ku kyalo Kireku, Bweyogerere mu Monisipaali y’e Kira yakwattiddwa ku by’okutta Nakabugo Jacqueline myaka 28 bw’amufumise akambe.
Muganda wa Mutegeeya, Henry Mutegeeeya agamba nti Nakabugo abadde yakawukana ne bba emyezi mitono.
Mungeri y’emu agambye nti muganda we abadde alumirizza mukyala we Nakabugo okubba ekyapa ky’ettaka.
Henry Mutegeeeya agamba nti omukyala abadde yakirizza okomyawo ekyapa ky’ettaka ng’omusajja alina okumuwa akakadde kamu (1,000,000).

Omukyala bwe yakomezaawo ekyapa, omusajja Abdulla yamufumise akambe naamutta.
Omusajja Abdulla yabadde agezaako okwetta ekiro ky’olunnaku Olwomukaaga oluvanyuma lw’okutta mukyala we kyokka abatuuze bamwanguyidde.
Okusinzirwa kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire Abdulla ali mu ddwaaliro e Mulago ku mpingu okufuna bujanjabi era aguddwako gwa butemu.
Abdulla abadde mu bufumbo ne Nakabugo emyaka egisukka 4 okutuusa lwe bafunye obutakaanya ne baawukana.