Bannayuganda abalina emputu, boolekedde okusibwa emyaka 7 singa banaakwatibwa ku misango gy’okugyemera ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni.

Okuva sabiti ewedde, Pulezidenti Museveni awadde ebiragiro eby’enjawulo, okutangira ssenyiga we China ‘Covid-19’ okusasaanira eggwanga lino, nga mu kiseera kino Uganda, yakafuna abantu mwenda (9) abalwadde.

Museveni yaggadde ensalo zonna, okuyimiriza ennyonyi ezitambuza abantu, yaggadde amasomero omuli ne yunivasite, amasinzizo, okuyimiriza ebivvulu, ebbaala ssaako ne Kirabu zonna eziri mu ggwanga.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, alabudde bannayuganda okuteeka mu nkola ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga, okwewala okuvundira mu kkomera.

Enanga agamba nti omuntu yenna anaakwatibwako ku by’okugyemera ebiragiro, wakusibwa emyaka musanvu (7) ku misango gy’okugyemera ebiragiro n’obulagajjavu.