Abakugu mu nsonga z’ebyobulamu balabudde abantu bonna abali mu mukwano okwesonyiwa kkiisi mu kiseera kino.
Ensi yonna mu kiseera kino, abantu bali ku bwerinde ku ngeri gye bayinza okwewala obulwadde bwa Covid-19 obusasaanyizibwa akawuka ka Coronavirus.
Abantu 392,156 bebalwadde mu nsi yonna ate abaakafa bali 17,138.
Wabula Dr.Henrick okuva mu ggwanga erya Bungereza agamba nti mu kiseera kino abantu abali mukwano bali okwesonyiwa Kiisa nga bali mu kaboozi.
Dr.Henrick agamba nti kkiisi, okukwata omukazi mu bitundu by’ekyama mbu amuteeka mu muudu, ebyokwegwa mu kifuba, buli muntu yenna alina okubyesonyiwa.
Agamba nti oyinza okuba ne mukwano gwo nga yagaanye okunaaba mu ngalo, ekiyinza okuvaako ssenyiga we China okukuyingira.
Mungeri y’emu alabudde abantu okwesonyiwa akaboozi mu kiseera kino n’omuntu nga tomwesiga bulungi oba omukyafu kuba kiyinza okuviirako okulwala.
Obulwadde bwa Covid-19 tebulina ddagala wabula abasawo bakola kyonna ekisoboka okuvumbula eddagala eriyinza okuwonya abantu mu nsi yonna.