Gavumenti mu ggwanga erya Kenya, eyimiriza abasuubuzi mu ggwanga okuyingiza engoye enkadde egimanyiddwa nga emivumba.

Abasuubuzi mu ggwanga eryo, baludde nga bagula engoye enkadde e China, America, Bungereza ssaako n’ensi endala nga bangi ku bantu ba wansi zebasinga okwetanira olw’okuba ku layisi.

Okusinzira ku muwandiisi w’ensonga z’obusuubuzi Betty Maina, engoye enkadde ziwereddwa nga kikoleddwa okutangira ssenyiga we China, Covid-19 obutasasaana.

Gavumenti alabudde abasuubuzi okwesonyiwa engoye enkadde kuba kati kimenya mateeka wabula okweyambisa amakkolero agali munda mu ggwanga, okufuna engoye ez’okutunda.

Mu kiseera kino Kenya erina abalwadde 28 era bannansi basabiddwa okwongera okwekuuma, okusobola okwetangira ekirwadde.

Mu nsi yonna, abalwadde bali 475,879 ate abaakafa baweze 21,367.