Mu Uganda, mu kisaawe ky’okulakulanya eby’okuyimba n’okuwa abaana abato omukisa okutumbula Talenti, Polodyusa Daddy Andre alinako ettofaali ddene.

Andre wadde Polodyusa, musajja muyimbi era alina ennyimba omuli Sikikukweeka, More and More, You and Me ate ayimba bulungi.

Abayimbi omuli John Blaq, Spice Daina, Lydia Jazmine, Angella Katatumba, Karole Kasita n’abalala bakola bulungi mu kisaawe ky’okuyimba lwa Andre okubakolera ennyimba.

Tuwayizaamu n’abayimbi ab’enjawulo era bagamba nti Andre alina ‘okutu’, oluyimba aluwa obudde ate mutetenkanya nnyo, ekimufudde Polodyusa ow’enjawulo n’ebyana okumuyaayaanira okubikolera ennyimba omuli n’okuwandiika.

Mungeri y’emu abayimbi bagamba nti Andre mu situdiyo, azinira ku nnyimba zonna zaakoze nga tannaba kulufulumya okugenda ku Leediyo ne Ttivvi kuba alina okuwa abantu ekintu ekirungi.

Abayimbi bagamba nti Andre, Polodyusa asobodde okuyamba abayimbi bangi nnyo abato okuvaayo omuli n’okuwandiika ennyimba newankubadde waliwo ebyogerwa nti alina omuze gw’okusaba akaboozi abayimbi abato, okusobola okukola ku nnyimba zaabwe oba okubawa kolabo.