Obulamu tebugulwa ate tebulina sipeeya kyokka ekyewunyisa mu Uganda waliwo abantu abazanyira ku nsonga z’obulamu.
Ensi yonna, eri ku bwerinda olw’ekirwadde kya Covid-19 ekisaasanyizibwa akawuka ka Coronavirus era mu nsi yonna, abantu 559,103 bebalwadde ate abaakafa bali 25,278.

Wanno mu Uganda, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akoze ebintu eby’enjawulo okutangira Covid-19 okusasaana omuli okuggala amassomero gonna mu ggwanga ne Yunivasite, okuggala amasinziko, ensalo, okuyimiriza entambula y’olukale yonna okumala ennaku 14 mu kaweefube w’okulwanyisa obulwadde bwa COVID-19 obufuuse ekizibu mu nsi yonna.

Mu kiseera kino Uganda erina abalwadde 18 era okusinzira ku Minisita w’ebyobulamu mu ggwanga, Dr. Jane Ruth Aceng, bangi ku balwadde baavudde mu kibuga Dubai kyokka ku balwadde kuliko n’omwana myezi munaana (8) ng’abazadde batuuze mu bitundu bye Iganga.
Sabiti ewedde, Minisita Aceng yategeeza nti wadde ensi omuli China, America, Italy, Spain, Germany, Iran, France ne Bungereza abalwadde bangi ssaako n’abantu abaakafa obulwadde bwa Covid-19, okunoonyereza kulaga nti mu kibuga Dubai waliwo abantu bangi nnyo abalwadde.

Minisita Aceng yategeeza eggwanga nti abalwadde mu Uganda baava Dubai, ekiraga nti balina okuddamu okwekebejja abantu bonna abaliko e Dubai mu sabiti 2 eziyise era kwekusaba abantu bonna abaliko mu kibuga ekyo, okuyamba okuvaayo okwekebejjebwa.

Okuva ku Mmande nga 23, March, 2020, omuwendo gw’abantu gweyongedde ku ddwaaliro ekkulu e Mulago era bagamba nti baaliko mu kibuga Dubai kyokka balina okutya nti balina obulwadde nga y’emu ku nsonga lwaki bavuddeyo okwekebejjebwa.
Olunnaku olwaleero, omusasi waffe atuseeko ku ddwaaliro e Mulago era asanzeeyo abantu abasukka 100 nga abamu batadde masiki mu feesi n’okwambala giravuzi mu ngalo.
Ku ddwaaliro e Mulago, wasangiddwayo n’omuwala ali mu myaka 24 kyokka abadde ali mu maziga nga yenna amyuse amaaso era wakati ng’akaaba agambye nti, “bambi munyambe sisobola kussa‘ era Ambulensi ebadde eraga nti eva ku ddwaaliro ly’abakyala e Bukoko etuuse era omuwala ateekeddwa mu Ambulensi natwalibwa mu ddwaliro era kigambibwa atwaliddwa mu ly’abakyala e Bukoko.

Abantu ku ddwaaliro e Mulago bagamba nti abasawo tebeefiirayo ate nga betaaga ebbaluwa eziraga nti tebalina bulwadde kuba bali mu kweralikirira.
Dayirekita w’eddwaaliro lya Mulago, Dr. Baterana Byarugaba agamba nti omulimu gwabwe gwa kujanjaba balwadde si kwekebejja bantu.

Minisita omubeezi ow’eby’obulamu Robinah Nabbanja agamba nti agenda kunoonyereza ku ky’omuwala atwaliddwa mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi.
Ate ku ky’abantu abaasangiddwa ku ddwaaliro ng’abalinze abasawo okubekebejja oba balina obulwadde obwa Covid-19, Minisita Nabbanja agambye nti bangi ku bantu abageenda mu ddwaaliro basusizza ennaku 14 nga bali mu Uganda, ekiraga nti tebalina bulwadde era tebagwanidde kukeberebwa.
Minisita agamba nti omuntu gwe bekebejja, alina okuba ng’alina obubonero obwefanaanyirizaako obw’omulwadde wa Covid-19 omuli olusujjasujja, ssennyiga, ekifuba, okulumwa omutwe n’okumenyekamenyeka mu nnyingo n’ebinywa.

Wabula bannayuganda balina ebibuuzo, Gavumenti zerina okwanukula mu kulwanyisa Covid-19.
1 – Lwaki ku ddwaaliro ekkulu e Mulago bakirizza abantu okung’aana ate nga kisasaanya obulwadde?
2 – Minisitule y’ebyobulamu yategeeza nti erina ‘passport’ z’abantu abaava e Dubai, lwaki tezikozesa okubanoonya okusinga okweyambisa leediyo ne ttiivi okubanoonya?
3 – Ku ddwaaliro e Mulago, Minisitule y’ebyobulamu erina abasawo bameka abalina okwekebejja abantu?
4 – Ku ddwaaliro e Mulago, abantu abamu tebalina Masiki wadde Gilavuzi ekiyinza okuvaako obulwadde, Gavumenti ekirowoozaako ki?
5 – Lwaki balwaawo okutegeeza abantu ekigenda mu maaso ku ddwaaliro e Mulago?
6 – Lwaki abasawo batya abantu abagendayo okukeberebwa oba si mulimu gwabwe?
7 – Abasawo abali e Mulago batendeke ekimala okwenganga Covid-19?
8 – Abamu ku bantu abagenda e Mulago bakwatakwata ku bisenge ekiyinza okuvaako abantu abalala okufuna obulwadde, naye Gavumenti ekirowoozaako etya?
9 – Abantu bonna abaava mu nsi z’ebweru bali mu Kalantini oba?
10 – Abantu abazuuliddwa nga balwadde okuva mu bantu okuli omwana myezi 8, Gavumenti ekozeewo ki?
11 – Minisita yasabye abantu bonna abaali e Dubai okuvaako okubekebejja, ate lwaki erwawo okubakolako e Mulago?