Ekiyongobero kyongedde okubutikira eggwanga lino, Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bw’akedde okulangirira nti omuwendo gw’abantu abalina ssennyiga we China, Covid-19 gweyongedde.
Okusinzira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa enkya ya leero ku mukutu ogwa Face Book ogwa Pulezidenti Museveni, abantu 4 bazuuliddwa nga balwadde, Uganda neweza omuwendo gw’abantu 18 abalina Coronavirus.
Museveni agambye nti ku Lwokusatu nga 25 omwezi guno Ogwokusatu, abantu 104 bakebeddwa nga baava mu kibuga Dubai n’amawanga amalala era bazuuliddwa nga tebalina bulwadde.
Olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna nga 26, abantu 197 bakebeddwa nga nabo baava mu Dubai era abantu 4 bazuuliddwa nga balwadde.
Museveni era agambye nti bonna abakebeddwa omuzuuliddwa abalwadde, babadde mu Kalantini era azzeemu okujjukiza bannayuganda okuteeka mu nkola engeri zonna ez’okutangira Ssennyiga we China.
Ate ku balwadde 14 abali mu ddwaaliro okuli Entebbe, Mulago ssaako ne Masaka, Museveni agambye nti embeera yaabwe ewa esuubi olwa basawo okukola buli ekisoboka okutaasa obulamu.