Omuyimbi Rema Namakula amaliridde okuzza ku mwana we Aamaal Musuuza Malaika okusobola okunyweza obufumbo bwe ne bba Dr. Hamzah Ssebunya.
Rema yayanjula Dr. Ssebunya mu bazadde nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku lwe Masaka oluvanyuma lw’okusuulawo eyali bba omuyimbi Eddy Kenzo gwe yali azaalidde omwana omu yekka mu myaka 4 n’ekitundu nga bali mu bufumbo bwa kawundo kakubye eddirisa.

Mu bufumbo, omukyala okuzaala omwana y’emu ku mpagi eyimirizaawo amaka wadde omukyala mulungi.
Getufunye galaga nti Rema ayinza okuba ali lubuto lwa Ssebunya wadde tannamukuba mbaga.
Okusinzira ku mukwano gwa Rema agaanye okwatuukiriza erinnya lye, obubonero bwonna bulaga nti mukyala Ssebunya ali lubuto, okulaga ensi nti ddala ali mu bufumbo.

Mukwano gwa Rema agamba nti, “Nze nnazaalako era singa omuntu yenna aba lubuto nsobola bulungi okumutegeera, olaba, Rema afunye omubiri ate asukkiridde okuyoya ebintu eby’enjawulo, ekiraga nti ayinza okuba ali lubuto. Kale tannaba kulaga bulungi kuba ayagala nnyo engoye ennene wabula kirabika olubuto lwa myezi 2 oba 3 era bw’aba wakuzaala, alina kuzaala mu guno omwaka gwa 2020. Mwana gwe nkwesiga, toyogera erinnya lyange, Rema ayinza okunkyawa ne bba kuba ayagala okukola ebintu bye mu nkukutu“.
Ng’omusajja omulala yenna, Dr. Ssebunya naye alindiridde Rema kumuzaalira mwana kuba y’emu ku ngeri eyitibwamu omusajja yenna okufuna essannyu mu maka.