Bya Zainab Ali
Pasita Yiga Augustine owa Revival Christian Church e Kawaala amanyiddwa nga ‘Abizaayo’, asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kitalya- Mityana okutuusa nga 6 omwezi ogujja ogwokuna bw’asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddala erisooka Timoth Lumunye owa Mwanga 11 mu Kampala.
Pasita Yiga myaka 43 aguddwako omusango, okwenyigira mu kikolwa ekiyinza okuvirako okusasaanya endwadde, nga kigambibwa nti nga 27 omwezi guno Ogwokusatu, 2020 ku Kanisa ye e Kawaala, yategeeza nti teriyo bulwadde buyitibwa ‘Corona Virus’ mu Uganda ne mu Africa kyokka mu kkooti, omusango agwegaanye.

Munnamateeka wa Pasita Yiga, Wilber Kayiwa, mu kkooti asabye omulamuzi omuntu we okweyimirirwa, awoze ng’ava maka ge era ayanjudde abajulizi basatu okuli Kabuye Simon, Mulungi Ruth ne Babirye Jackie nga bonna abatuuze be Kawaala.

Munnamateeka Kayiwa era agambye nti Pasita Yiga atawanyizibwa ekirwadde kya Sukaali, alina abaana 8 abokulabirira ate nga ‘Senior’ Pasita, alina kuddukannya emirimu gy’ekanisa nga tasobola kubikolera mu kkomera.
Wabula Omulamuzi Lumunye akatyemudde bw’ategeezeza nti tasobola kusalawo mu lujudde lw’abantu abakedde mu Kkooti nga bali mu kwenyigiriza, ekiyinza okuvaako ‘CoronaVirus’ okusasaana era asuubiza okuwa ensala ye sabiti ejja ku Mmande nga 6, omwezi ogujja Ogwokuna.

Pasita Yiga olutudde ku kabangali ya Poliisi okumutwala my Kkomera e Mityana agumiza endiga ze nti buli kimu kijja kuggwa.
Vidiyo