Gavumenti, erangiridde okutandiika okuwa abantu emmere, okubayisa mu kaseera kano nga bagaliddwa awaka, mu kiseera ky’okulwanyisa ssenyiga ‘Covid-19′.
Okusinzira ku Ssaabaminisita w’eggwanga Dr. Ruhakana Rugunda, bagenda kutandikira mu Kampala ne Wakiso okuwa abantu emmere okuva ku Lwomukaaga nga 4, Omwezi guno Ogwokuna.
Mu ngeri y’emu agambye nti buli muntu, bagenda kumuwa kkiro z’akawunga 6, ez’ebijanjalo 3 ssaako n’omunnyo ate abakyala abalwadde ssaako n’abali embuto, bageenda kubagattirako amata g’obuwunga kkiro 2 ssaako ne ssukkaali kkiro 2.
Ssaabaminisita Rugunda era agambye nti okuwa abantu emmere, kugenda kulemberwamu bassentebbe ku byalo nga bayambibwa ekitongole kya Poliisi ssaako n’amaggye okusobola okutangira abantu okung’aana ne bassentebbe okulaba obwerufu mu kuwa abantu emmere.
