Omuyimbi Eddy Kenzo alaze nti wadde ali mu Kalantini mu ggwanga erya Ivory Coast mu Hotero, talina kwebowa kwonna mu kiseera kino.
Kenzo tasobola kudda mu Uganda olwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuggala ensalo zonna n’okuyimiriza ennyonyi zonna ezitambuza abantu okuggya mu Uganda ng’emu ku ngeri y’okutangira Corona Virus okusasaana.

Mu kiseera kino Kenzo ali mu Hotero mu ggwanga erya Ivory Coast okutuusa ng’ensalo zigguddwawo newankubadde ayagala nnyo okudda mu ggwanga lye.

Mu kiseera kino nga Kenzo asobeddwa eka ne mu kibira alaze engeri gy’amalako olunnaku mu Kalantini.
Kenzo atadde vidiyo ez’enjawulo ku mukutu ogwa Instagram nga byana biwala ebyanywa amata bikyusa ebiwato ku luyimba lwe Tweyagala, ekiraga nti olunnaku alumalako enoonya vidiyo za byana, okwemalako ekiwubaalo.

Ezimu ku vidiyo za Kenzo ku Instagram

1

2

3

4

5