Minisita w’ebyobulamu mu ggwanga, Dr. Jane Ruth Aceng awadde amagezi omuyimbi Edrisa Musuuza amanyikiddwa nga Eddy Kenzo, okwekuuma bw’aba yandyagadde okudda mu Uganda.
Kenzo y’omu ku bannayuganda abasobeddwa abali mu ggwanga erya Ivory Coast ssaako n’ensi endala olw’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuggala ensalo eziyingira mu ggwanga ssaako n’okuyimiriza ennyonyi, ezitambuza abantu okuggya mu ggwanga.
Museveni yaggala ensalo n’okuyimiriza ennyonyi ng’emu ku ngeri y’okutangira abava ebweru w’eggwanga, okwongera okuleeta obulwadde obwa Corona Virus mu Uganda.
Kenzo abadde yeyambisa emitimbagano gya yintanenti omuli ogwa Face Book okutegeeza nti mu Ivory Coast, Kalantini yamusanga mu Hotero, kyokka embeera eyongedde okumwononekera.
Wabula Minisita Aceng agamba nti Kenzo ne banne abali mu nsi z’ebweru, balina kujjumbira kwekuuma, obulwadde obutabakwata, okutuusa nga Kalantini eweddeko.
Agamba nti mu kiseera kino ensalo nzigale era tebalina mukisa gwonna kudda mu ggwanga okutuusa nga embeera erongoose.
Ate ku nsonga ya bannayuganda abasobeddwa nga betaaga obujanjabi, Minisita Aceng alabudde bannayuganda okweyambisa abakulembeze ku byalo omuli ba RDC okufuna ebbaluwa, ebakiriza okutambula.
Minisita Aceng alabudde abazadde okutwala abaana mu ddwaaliro okubagema, abakyala abagenda okuzaala okuddukira mu malwaliro ssaako n’abantu bonna abetaaga obujanjabi.
Mungeri y’emu alangiridde Kampeyini etuumiddwa ‘Tonsemberera’ okujjukiza abantu nti okung’anira awamu oba okusemberera munno, kiyinza okuvaako ‘Corona Virus’ okusasaana.
Eddoboozi lya Minisita Aceng