Omukyala Fauza Kauda ali maziga oluvanyuma lw’okukubwa essasi ku ssaawa 2 ez’ekiro, ekikeseza olwa leero mu ssaawa za Kafyu mu kisambi.
Kauda mutuuze ku kyalo Kiwanga-Rwanda mu ggombolola y’e Goma mu disitulikiti y’e Mukono, agamba nti yakubiddwa essasi bwe yabadde alaba ttiivi mu ddiiro era essasi lyayise mu kisenge.
Amangu ddala, neyiba we ate nga ye ssentebbe w’ekyalo yamututte mu Kalwaliro akalu okumpi aka Life Link e Kyaliwajjala, okutangira omusaayi okumugwamu.

Kauda agamba nti abasawo, baamusindise mu ddwaaliro ekkulu e Mukono kyokka ekyabuliddwa ebbaluwa ya RDC emukiriza okutambula olwa bba, akyasobeddwa mu bitundu bye Kamuli olw’okuwera entambula zonna.
Kauda asaangiddwa ng’ali mu maziga agamba nti yetaaga okulongosebwa okumugyamu essasi.
Ku nsonga eyo, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza omuntu eyakubye essasi.