Abantu abalala 2 bafudde Corona Virus mu ggwanga erya Kenya nga n’omuwendo gw’abalwadde gweyongedde obungi.
Okusinzira ku Ssabawandiisi w’ensonga z’ebyobulamu Mutahi Kagwe, abafudde kuliko abadde mu kibuga Nairobi ne Mombasa.
Mungeri y’emu agambye nti abantu 110 bebalwadde, oluvanyuma lw’okuzuula abalwadde abalala 29, webuzibidde olwaleero.

Ku balwadde kuliko bannansi ba Kenya ne munnansi wa Congo.
Kagwe alabudde bannansi abali mu kweyambisa entambula y’olukale, okwambala masiki okutangira okufuna obulwadde ssaako n’okusiiga abalala.
Mungeri y’emu asabye bannansi okuvaayo okwekebejjebwa okutaasa eggwanga, obulwadde obutasasaana.
Mu kiseera kino Corona Virus yakatta abantu 49,165 ate abalwadde bali 961,749.