Akakiiko k’ebyokulonda kongezzaayo okulonda abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo mu ggwanga lyonna.

Okusinzira ku ssentebbe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama, okuwandiisa abaanavuganya ku bukiiko bw’abaliko obulemu, abakadde ssaako n’abavubuka, kubadde kulina okubaayo omwezi guno Ogwokuna kyokka olwa ‘Corona Virus’, okulemesa abantu okung’aana, okuwandiisa n’okulonda kuyimiriziddwa.

Byabakama asuubiza okutegeeza eggwanga enkyukakyuka empya lwe banalonda abakulembeze baabwe nga tewali kutya nti CoronaVirus ayinza okubakosa.