Kyaddaki omuyimbi Grace Ssekamatte asiibuddwa okuva mu ddwaaliro lya, Boston Medical Centre mu kibuga Boston mu ggwanga erya America, oluvanyuma lw’okukwatibwa ekirwadde ki Covid-19 ekisaasanyizibwa akawuka ka Corona Virus.

Ssekamatte yaweebwa ekitanda sabiti ewedde ku Lwokusatu oluvanyuma lw’abasawo okumwekebejja ng’alina Covid-19 kuba yali alina ekifuba, omusujja ogw’amaanyi ate nga talina maanyi.

Kigambibwa Ssekamatte yasiibuddwa oluvanyuma lw’abalwadde ba Corona Virus okweyongera mu ggwanga erya America nga mu kiseera kino abasawo basiibula abo ababeera batereddemu.

Ssekamatte nga y’omu ku dayirekita ba Golden band mu Uganda, bw’abadde awayamu naffe ng’asinzira mu kibuga Lexington – Boston agambye nti yafunye obujanjabi era alina esuubi okuwona obulungi okudda mu Uganda.

Mungeri y’emu Ssekamatte baamuwadde ebiragiro omuli okusigala awaka okumala ennaku 14 ng’abasawo bwe bongera okwetegereeza.