Bryan White nga amannya ge amatuufu ye Brian Kirumira eyali yeegulidde erinnya mu kumansamansa ssente alaze nti mu kiseera kino naye alya ku ssente ze, yakoowa okuyamba abantu abatamusiima.

Mu kiseera kino nga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akola ebintu eby’enjawulo okutangira Corona Virus okusasaana, waliwo abagagga abavuddeyo okuyamba Gavumenti n’ebintu eby’enjawulo omuli emmere, kapyata z’emmotoka, sukkali, amazzi n’ebintu ebirala.
Olunnaku olw’eggulo, Omugagga SK Mbuya yawadde Gavumenti ttaani 40 ez’akawunga okuyamba ku bantu abali mu mbeera embi, abetaaga eby’okulya mu kiseera kino ekya Kalantini ne Kafyu.

Wabula n’omugagga Bryan White alaze nti ssente ekyaliwo wadde yakoowa okuyamba abantu abatasiima.
Bryan White asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulabula abantu okwekuumira mu nnyumba okwewala okulwala Corona Virus era balina okusinzira mu nnyumba okulya obulamu, “Have your fun indoor and avoid crowded places to maximize on your chances of not contacting the virus“.

Bryan White alese bannayuganda bamunyenyeza mitwe mu Kalantini kuba mu kiro ekimu, asobodde okusasaanya bukadde bwa ssente okwesanyusa omuli okunywa emyenge egy’ebeeyi okulaga nti wadde SK Mbuga ye avuddeyo kuyamba bantu, naye ssente ekyaliwo.