Pasita Yiga Augustine owa Revival Christian Church e Kawaala amanyiddwa nga ‘Abizaayo’, wakulira Amazuukira ga Mukama waffe Yezu Kristu mu kaduukulu ku limanda mu kkomera lye Kitalya e Busujju mu disitulikiti y’e Wakiso ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mityana.
Pasita Yiga abadde alina okuletebwa mu Kkooti ya Mwanga II e Mengo enkya ya leero, Omulamuzi okusalawo oba ayimbulwa oluvanyuma lw’okusaba okweyimirirwa kyokka tekisobose.
Sabiti ewedde, Pasita Yiga yasaba okweyimirirwa olw’ekirwadde kya Sukaali, ekitamusobozesa kuwangalira mu Kkomera, alina abaana 8 ab’okulabirira ssaako n’Endiga ez’okusumba era mu kkooti, yaleeta bajulizi 3.
Wabula Omulamuzi w’eddala erisooka Timothy Lumunye ali mu mitambo gy’omusango guno, alangiridde nga 16 omwezi guno Ogwokuna, Pasita Yiga okumuzza mu Kkooti era ayisiza n’ekiwandiiko ekikambwe ekiragira ekkomera lye Kitalya, Pasita Yiga okumuleeta mu kkooti.
Munnamateeka wa Pasita Yiga, Kayiwa Wilber atabukidde ku kkooti era avumiridde enkola ya makkomera mu Uganda etali nambulukufu, okulemesa abantu okufuna amazima n’obwenkanya.
Kinnajjukirwa nti Pasita Yiga, 43 ali ku misango gy’okwenyigira mu kikolwa, ekiyinza okuvirako okusasaanya endwadde ekwata, nga kigambibwa nti yaguzza nga 27 omwezi oguwedde ogw’okusatu 2020, ku Kanisa ye e Kawaala, bwe yategeeza nti mu Uganda ne Africa, temuli ‘Corona Virus’ era Gavumenti ziriwo kolerako nsimbi kyokka mu kkooti omusango yagwegaana.