Akakiiko ka Palamenti akasunsulamu abantu Pulezidenti baaba awadde ebifo kagobye omuduumizi w’ekitongole ky’amakomera mu Uganda, Dr. Johnson Byabashaija n’omumyuka we James Mwanje akawungeezi ka leero.

Pulezidenti Museveni yazeemu okuteeka omukono ku ndagaano, okuwa Dr. Byabashaija n’omumyuka we Mwanje ekisanja ekirala okumuyambako okulembera ekitongole ky’amakkomera.

Akawungeezi ka leero, batuuse mu kakiiko, akabadde kakubirizibwa sipiika Rebecca Kadaga okusunsulwamu, okuddamu okutambuza emirimu wabula amawulire getufunye okuva mu nsonda ezesigika mu kakiiko, Dr. Byabashaija n’omumyuka we Mwanje bagobeddwa lwa myaka nga kigambibwa nti bonna basusizza emyaka 60 era omukozi wa Gavumenti yekka alina kuwugula.

Dr. Byabashaija akulembedde ekitongola ky’amakkomera emyaka egisukka 15 era oluvudde mu kakiiko agambye nti emyaka tegisobola kumulemesa kuwereza ggwanga lye.

Agamba nti wadde alina emyaka 62, etteeka terisobola kumukwata kuba ye alondebwa ku kontulakiti ya myaka 3.

Byabasaija yali yawumula ng’omukozi wa Gavumenti mu 2005.