Minisitule y’Ebyobulimi n’obulunzi yekubidde omulanga  nti yetaaga obuwumbi obulala 16 okusobola okulwanyisa ekibondo ky’enzige ekyayingidde Uganda mu Teso.

Okusinziira ku Minisita avunaanyizibwa ku Minisitule eyo,  Vincent Bamulangaki Ssempijja  waliwo enzige ento ezivudde mu ggwanga erye Kenya nga zayingiridde mu Disitulikiti y’e Amudat akawungeezi k’olunnaku Olw’okutaana nga 3, omwezi guno Ogwokuna.

Minisita Ssempijja agamba nti mu kiseera kino enzige zatuuse dda mu Disitulikiti okuli; Kumi, Katakwi, Otuke ne Agago, okulya emmere y’abantu, nga betaaga okuzifuuyira mu bwangu.

Mungeri y’emu agambye nti enzige zikyali nto nga mu kiseera kino zirya nnyo nga betaaga okuzikolako mu bwangu.

Minisita Ssempijja agamba nti mu kiseera kino betaaga obuwumbi 16 obulala, okutta enzige zonna mu bitundu ebyalumbiddwa nga ssente ezasooka obuwumbi 22 zaggwawo dda.

Eddoboozi lya Ssempijja