Omwana eyazaaliddwa nga nnyina mulwadde wa Corona Virus mu ddwaaliro Entebbe, akebeddwa nga mulamu.

Omwana nga wabuwala yazaalibwa ku lunnaku Olwomukaaga nga nnyina ebisa byamusimba ali mu ddwaaliro gy’ali mu kufuna obujanjabi.

Okusinzira kw’akulira ekitongole ekya Uganda Virus Research Institute Entebbe Dr Pontiano Kaleebu, akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande baafulumya alizaati z’abantu 231 nga bonna balamu nga n’omwana y’omu ku baakeberwa.

Ate Dr. Moses Muwanga akulira eddwaaliro lye Ntebbe agambye nti mu kiseera kino, bakola kyonna ekisoboka okukuuma omwana nga bw’alinda nnyina okuwona ekirwadde.

Mungeri y’emu Dr. Muwanga agaanye okwatuukiriza oba omwana mu kiseera kino akirizi okuyonsebwa oba okutwalibwako mu kasenge, nnyina mwali wadde omwana agambye nti ali mu mbeera nungi.

Webuzibidde, nga Minisitule y’ebyobulamu eraze nti abantu 150 bakebeddwa olwaleero era bonna bazuuliddwa nga balamu, ekiraga nti Uganda ekyalina abalwadde 52.