Poliisi erabudde abantu bonna abakeera okutambula okuyingira ekibuga Kampala nga befudde abasuubuzi abagenda okutunda emmere mu butale obw’enjawulo okukikomya.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, newankubadde omukulembeze w’eggwanga yakirizza abatunda emmere okusigala nga bakola, batandiise okwebuuza ekikeeza abantu mu Kampala nga si basuubuzi.

Enanga mu kwogerako eri bannamawulire ku Media Centre mu Kampala enkya ya leero, agambye nti omukulembeze w’eggwanga yaggala emirimu egisinga obungi mu Kampala era bongedde ku misanvu mu kkubo ng’abantu abatambula okuyingira Kampala, balina okuba n’ensonga.

Mungeri y’emu agambye nti abasuubuzi abatunda emmere, balina okuba ekiwandiiko ekiboogerako ekiraga omulimu gw’akola ssaako n’akatale gy’atundira nga kikoleddwa okutangira omujjuzo mu Kampala n’okuteeka mu nkola ebiragiro by’okutangira Corona Virus okusasaana.