Poliisi y’e Busia ekutte ‘crime preventer’ ku misango gy’okukukusa abantu okubayingiza mu Uganda.

Fred Mangoli nga mutuuze ku kyalo Mugungu mu ggombolola y’e Busia yakwattiddwa ku by’okuyingiza abantu mu Uganda okuva mu ggwanga erya Kenya nga bayita makkubo agatamanyiddwa.

Mangoli yakwattiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, oluvanyuma lwa batuuze okutemya ku Poliisi.

Okusinzira ku Poliisi, Mangoli abadde asaba wakati w’emitwalo 5 ne 10 okubayambako abantu okubatuusa mu Uganda ate nga mu kiseera kino ensalo zonna nzigale.

Amyuka RDC we Busia, Paul Kalikwan agambye nti mu kiseera kino Poliisi ekutte abasirikale 3 ssaako ne Mangoli era essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti ku misango gy’okugyemera ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni eby’okutambuza abantu mu kiseera nga ensalo nzigale.

Ate abatuuze nga bakulembeddwamu Aisha Muloni bagamba nti n’abasirikale bali ku nsalo, basukkiridde okwenyigira mu kulya enguzi, okuwa olukusa abantu okusala ensalo singa abaamu n’akasente.