Bya Zainab Ali

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye nawaayo cceeke ya bukadde 100 eri gavumenti ziyambeko okulwanyisa ekirwadde ki Covid-19, ekisasaanyizibwa akawuka ka Corona Virus.

Mungeri y’emu Obwakabaka buwaddeyo n’emmere enkalu egabibwe eri abantu abali mu bwetaavu mu kiseera kino, abatakyakola olwa Kalantini ssaako ne Kafyu.

Obwakabaka era buwaddeyo n’ebintu ebikozesebwa mukutangira ekirwadde kino.

Obuyambi, Kabaka abuttise Omulangira David Kintu Wassajja nga bukwasiddwa Katikkiro wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda mu Kampala enkya ya leero.

Ebimu ku biweereddwayo kuliko ensawo z’obuwunga bwa Kasooli 100, ttanka z’amazzi 100, masiki za ffeesi ssaako n’ebintu ebirala.

Ku mukolo gwe gumu, waliwo ne Kampuni endala ezivuddeyo okuyamba ku Gavumenti omuli Mandela Group ewaddeyo emmotoka 2 empya ekika kya Toyota Hilux Double Carbin ne Tiang Tiang Group abawaddeyo emmotoka ekika kya Jeep empya 2.

Abalala bawaddeyo emmere, ensimbi enkalu ne cceeke mwe muli aba Seroma, Tororo Cement, Sarayi Group n’endala.

Dr. Rugunda yakulembera akakiiko akalwanyisa Corona Virus mu ggwanga n’okuwa bannayuganda obuyambi omuli emmere ssaako n’ebintu ebirala wabula ku mukolo ogubadde ku offiisi ye mu Kampala ye ne banne bewunyisizza abantu.

Rugunda y’omu ku basawo abatendeke mu ggwanga era y’omu ku bakulembeze abalina okuba eky’okulabirako eri abantu abalala mu ngeri y’okutangira Corona Virus okusasaana.

Olunnaku olwaleero, olukwasiddwa cceeke ssaako n’ebintu ebirala, olw’essannyu yerabidde obulwadde bwa Covid-19 era ye n’abakungu okuva mu Buganda, obwedda beesemberedde nga tewali mita 4, eziragibwa abasawo ng’emu ku ngeri y’okwetangira obulwadde.

Mungeri y’emu alaze nti aggyemedde mukama we Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku nsonga ya mita 4 (muntu ku muntu) n’okutangira abantu abasukka mu 10 okung’anira awamu kuba wabaddewo abantu abasukka 40 omuli ne bannamawulire.

Newankubadde Dr. Rugunda agezezaako okujjukiza abantu mita 4 okwewala obulwadde n’okwewala okukwata ku bintu ebireeteddwa omuli ne cceeke, abantu balina emputtu era ensonga ya mita 4 tegobereddwa era olwa bakulembeze okweyisa mu ngeri bwetyo, Uganda tuli ku bwa Katonda.

Uganda mu kiseera kino erina abalwadde 52.