Ebitongole ebikuuma ddembe mu ggwanga nga bikulembeddwamu ekitongole ekya Poliisi, bikutte abantu 3 abasaangiddwa nga betekateeka okumenya amaduuka mu Kampala.

Abakwate kuliko Sunday Gerald, Nensi Magisibo ne Abasa amanyikiddwa nga duplicate.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, ekikwekweeto kyakulembeddwamu ASP, Ivan Nduhura mu kiro ekikesezza olwaleero.

Onyango agambye nti abakwate, basaangiddwa bali ku pulaani okumenya amaduuka ku Ben Kiwanuka mu kiseera kya Kafyu era basaangiddwa n’ennyondo, amajjambiya, obwambe, obutayimbwa ssaako n’ebintu ebirala ebyeyambisibwa mu kumenya enziggi.

Abakwate mu kiseera kino bali mu mikono gya Poliisi era Onyango agambye nti essaawa yonna, bakutwalibwa mu kkooti ku misango gy’obubbi.