Poliisi mu Kampala ekyatubidde n’abaana 10 abazze balondebwa mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo oluvanyuma lwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okulangirira amateeka g’okulwanyisa akawuka ka Corona Virus.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, abaana bali wakati wa myaka 6 ku 17 nga kigambibwa nti baalekebwa abazadde olwa Pulezidenti Museveni okuwera entambula y’olukale n’obwannanyini mu ggwanga lyonna.

Mu kiseera kino abaana bali ku kitebe kya Poliisi mu Kampala wansi wa ofiisi ekola ku nsonga z’amaka.

Onyango agamba nti abaana baalondebwa mu bitundu bye Namungoona, Bukalango Ndeeba n’ebitundu ebirala.

Abaana kuliko Kizza Mackline 15, okuva e Kibito, Fort Portal, Wasswa Mulongo Baahir 12, okuva ku kyalo Nkonge Luweero, Nakaami Lilian 17 okuva e Mbale (Kasanvu), Musinzi Issa okuva e Kamuli, Nakabito F ne Kaliba 6.