Bannayuganda abali mu ggwanga erya China bali mu maziga era basabye Gavumenti okuvaayo mu bwangu okubayamba kuba embeera eyongera okusajjuka.
Okusinzira ku munnayuganda mu ggwanga erya China ategerekeseeko erya Kyeyune, bannayuganda bangi bagobeddwa mu mayumba olwa ssente kuba mu kiseera kino bangi tebakyakola.
Mu kwogerako ne Hatima Nalugwa Ssekaya ku NBS TV, Kyeyune agamba nti olwa Corona Virus, bangi ku bannayuganda tebakyalina mirimu nga n’okugenda mu malwaliro, batandiise okubasosola.
Agamba nti bwe yagenze mu ddwaaliro ne mukyala we, abasawo bagaanye okumukolako nga taweereddwa nsonga yonna.
Kyeyune agamba nti mu kiseera kino bannayuganda bali mu bitundu bya China eby’enjawulo nga bayita mu kusoomozebwa okw’enjawulo era asabye Gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okubayamba okubaggya mu China kuba bali mu mbeera mbi mu kiseera kino.
Uganda mu kiseera kino erina abalwadde 53.
Vidiyo