Abakungu ba Gavumenti 4 abakozi mu wofiisi ya Ssaabaminisita bakwatiddwa ku misango egyekuusa, ku kupaluusa ebbeeyi y’emmere egulibwa, okuwa abantu ku kaseera kano aka Corona Virus.

Gavumenti yasuubiza okuwa abantu emmere abasukka mu miriyoni emu, omuli akawunga, ebijanjalo, amata g’obuwunga, Sukkali, ssaako n’omunnyo.

Wabula munnamaggye Lt. Col Edith Nakalema, akulira akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi mu State House, agambye nti okunoonyereza kulaze nti abantu 4 abakwattiddwa, babadde balemesa abantu abatunda emmere ku bbeeyi eya wansi n’ekigendererwa eky’okupaluusa emmere ku bintu.

Abakwate bakulembeddwamu muwandiisi ow’enkalakalira mu offisi ya Ssabaminisita Christine Guwatudde Kintu, omubazi w’ebitabo Joel Wanjala, amyuka akulira oggula ebintu Fred Lutimba ne Kaminsona ku bigwa tebiraze ku nsonga za Covid-19 Martin Owor.