Poliisi e Kireka ekutte emmotoka ya Minisitule y’ebyobulamu ku by’okugyemera ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga ne batika abantu abasukka mu 3 mu mmotoka, ekiyinza okuvaako Corona Virus okusasaana.
Emmotoka eri mu kika kya Takisi, esangiddwamu abakozi 25 okuva e Kireka okubatwala ku ddwaaliro e Naguru era bakwattiddwa Poliisi y’oku nguudo.
Okusinzira ku biragiro bya Pulezidenti Museveni eby’okulwanyisa Covid-19, buli mmotoka erina okutwala abantu 3 bokka, okutangira abantu okunganira wamu.
Mu kwogerako eri bannamawulire ku Media Center mu Kampala, Minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda mu ggwanga, Obiga Kania agambye nti buli mmotoka erina ogondera amateeka era singa batika omuntu asukka mw’omu, abasirikale balina okugikwata.