Poliisi y’e Kikuube eri mu kunoonya abantu 2 abaatemudde omukyala akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.
Omukyala Jenety Mbelinga myaka 30 abadde mutuuze ku kyalo Nyanseke mu ggombolola y’e Kabwoya, yattiddwa bwe yabadde ava mu nnimiro okukima enkota y’ettoke.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Albertine Julius Hakiza, Mbelinga abatemu baamuteeze mu kkubo ne bamutematema ejjambiya ku mutwe, mu ffeesi, mu kifuba ssaako n’emikono era abatuuze baawulidde miranga.
Abatuuze webatuukidde ng’omukyala amaze okufa wakati mu kitaba ky’omusaayi.
Hakiza agamba nti okunoonyereza kulaze nti omu ku batemu aliko oluganda ku mukyala eyattiddwa kyokka bonna babiri (2) baliira ku nsiko mu kiseera kino era baguddwako gwa butemu.