Poliisi ekutte ssemaka ku by’okusobya ku mwana omuto.
Kamya James myaka 50 nga mutuuze ku kyalo Kyoma mu ggombolola y’e Kigagga mu disitulikiti y’e Rwampala yakwattiddwa.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Kamya akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo yasobodde okusendasenda omwana Kiggala ali mu gy’obukulu 14 namuyingiza mu nnyumba era abatuuze baawulidde miranga.
Enanga mu kwogerako eri bannamawulire ku Media Centre mu Kampala agamba nti abatuuze webatuukidde mu nnyumba nga ssemaka Kamya ali ku mwana amusobyako wakati mu kulukusa maziga olw’obulumi.
Abatuuze baatemeza ku poliisi, Kamya yakwattiddwa era essaawa yonna bamutwala mu kkooti ku musango gw’okujjula ebitanajja.