Poliisi mu Kampala ekutte omusajja ku by’okusasaanya amawulire ag’obulimba ku Covid-19.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, omusajja akwattiddwa ye Obek Adam mutuuze we Mutuungo era mukozi mu kitongole ki KCCA.

Enanga agamba nti sabiti wedde Adam yafulumya akatambi, akalaga nti Uganda erina omulwadde eyabadde omutuuze we Koboko, eyafudde ‘Corona Virus’.

Mu kwogerako eri bannamawulire ku Media Centre mu Kampala, Enanga agamba nti abantu nga Adam, ebikolwa byabwe eby’okusasaanya amawulire ag’obulimba bigendereddwamu okumalamu amaanyi abali ku mulimu gw’okutangira Kolona okusasaana omuli abasawo, ebitongole ebikuuma ddembe, abakulembeze mu disitulikiti ssaako n’ okutiisa abantu.