Minisitule y’ebyobulamu mu ggwanga erya Tanzania ezudde abalwadde ba COVID-19 abalala 14.
Ku balwadde abazuuliddwa, 13 bali mu kibuga Dar es Salaam ate omu ava mu kibuga Arusha.
Mu kiseera kino Tanzania erina abalwadde 46 ekireseewo okutya nti akawuka ka ‘Corona Virus’, kayinza okweyongera okusasaana.
