Ssentebbe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ayongezaayo ennaku za Kalantini ssaako ne Kafyu mu ggwanga lyonna okumala ennaku endala 21 ng’emu ku ngeri y’okutangira Kolona okusasaana.

Museveni mu kwogerako eri eggwanga ng’asinzira mu makaage e Nakasero, agambye nti ennaku 21 zitandiika olunnaku olw’enkya ku Lwokusatu okutuusa nga 5 omwezi gujja Ogwokutaano.

Agamba nti, bagenda kweyambisa ennaku ezo, okwetegereza embeera era bannayuganda balina okusigala awaka nga bwekibadde.

Museveni mu engeri y’emu enokoddeyo engeri 5 ez’obulabe, eziyinza okuvaako Kolona okusasaana mu ggwanga.

Kuno kuliko abasawo abali ku ddimu ly’okujanjaba abalwadde ba Kolona, abakozi mu kibiina ky’amawanga amagatte abayingira n’okufuluma eggwanga, abantu abayita mu panya ku nsalo, ssaako ne baddereeva abatambuza ebyamaguzi mu nnyonyi ne Tuleera.

Mungeri y’emu alabudde abasirikale n’abakozi mu kitongole ekivunaanyizibwa ku bantu abayingira n’okufuluma eggwanga, okwewala okwenyigira mu kulya enguzi ne bakirizza abantu okusala ensalo okuyingira mu Uganda, ekiyinza okuvaako obulwadde okusasaana.

Museveni agamba nti yenna anaakwatibwako nga yeenyigidde mu kulya enguzi, ali ku misango gy’obutemu era asabye abakulembeze ku byalo okuyambako, okutangira abagwira abayinza okubayingiramu.

Ate ku nsonga y’okuwa abantu emmere, Museveni agambye nti balina okuwa abantu abakola emmere ya leero, omuli aba saluuni, Takisi, mu bbaala, Kirabu, Ggalagi n’obutale kyokka buli muntu yenna ng’afuna omusaala, eky’emmere agyerabire.

Museveni era awadde ekiragiro Minisita w’ebyentambula, Gen. Edward Katumba Wamala ne Katikkiro wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda okuddamu okutuula okusalawo ku nsonga y’obugaali ssaako ne Bodaboda okuzigaana okutambula okusukka essaawa 8 ez’emisana.

Museveni agamba nti talabawo nsonga yonna lwaki Bodaboda n’obugaali, bugaanibwa okutambula emisana okusukka essaawa 8.