Mu kiseera nga bannayuganda bali mu bweralikirivu olwa ‘Corona Virus’, nate omuyimbi Ykee Benda ali mu ssannyu oluvanyuma lwe mbeera okumusindikiriza okudingana ne mukyala we Julie Batenga.
Benda yafuna obutakaanya ne kabiite we Batenga mu 2018 ne baawukana era abadde kumudaala gwa banoonya.

Wabula olw’embeera, egenda mu maaso mu ggwanga olwa Kalantini ne Kafyu, Benda yakooye okubonabona era yakomezaawo Batenga okuddamu okulya obulamu kuba ng’omusajja omulala yenna, abadde alina ennyonta y’omukwano nga waaya ebbanja.

Benda era agambye nti mukyala we alina omwana omuto myezi mwenda (9), ekiraga nti abadde alya ebintu mu nkukutu era alaga nti omukyala yamukomezaawo olw’obuzibu obuli mu Kalantini.

Kinnajjukirwa nti Benda yasaba Batenga obufumbo mu lwatu April wa 2017 ne bamwanjula mu bazadde mu May wa 2017 kyokka Benda yategeeza nti baali baawukanye mu by’obufumbo mu 2018.

Vidiyo

https://www.youtube.com/watch?time_continue=256&v=6WSfBZI8i6A&feature=emb_logo