Omuyimbi Angella Katatumba naye avuddeyo ku nsonga za Polodyusa Daddy Andre okuganza abayimbi abato mu situdiyo nga bagenze okukwata ennyimba.

Okuva omwezi oguwedde Ogwokusatu, ebigambo bibadde byogerwa nti Andre aganza abawala abayimbi abato wadde ye abyegaana.

Wabula Angella agamba nti wadde ye yaliko mu laavu ne Andre, bayawukana nga waliwo ebigaanye okutambula obulungi omuli Andre okugaana okugenda ku musaayi okwekebeza akawuka akaleeta mukenenya.

Ku nsonga ya Andre okugaanza abayimbi abato mu situdiyo, Angella agambye nti, “muntu waddembe okwagala omuntu gwayagala singa omuntu akirizza nga tewali akakiddwa”.

Mungeri y’emu agambye nti Andre alina ekitanda ku situdiyo kuba ge makaage kyokka okutwalayo abawala okwerigomba takirinaako buzibu singa bakaanya ng’abantu abakulu.