Pasita Martin Ssempa avuddeyo ku nsonga z’abayimbi abagamba nti betaaga okuyambibwa mu kiseera kino ekya Kalantini okufuna eby’okulya.

Waliwo abayimbi ne bannakatemba abagamba nti olw’embeera, tebakyakola, tebalina ssente era bangi tebalina wadde kyakulya, kwekusaba Gavumenti okubaduukirira.

Wabula Pasita Ssempa alabudde abayimbi ne bannakatemba okwesonyiwa amalala kuba tekigenda kubayamba.

Pasita Ssempa agamba nti abayimbi balina okwenyigira mu by’okulima kuba kulimu ssente.

Bw’abadde awayamu naffe, alabudde omuyimbi Bebe Cool okwesonyiwa obubina nti “Yadde Katono akakankanya kankanya” okudda mu kulima ebintu nga muwogo oba bogoya.

Mungeri y’emu alabudde mukyala Ssebunya Hamzah, Rema Namakula ne Eddy Kenzo okudda mu kulima kuba y’emu ku ngeri y’okweyongera okufuna obugagga.

Pasita Ssempa agamba nti singa bannayuganda bava mu kweraga ne badda mu kulima, tewali mbeera yonna eyinza kubanyigiriza.