Poliisi y’e Wandegeya ekutte omusajja Kyambadde Haruna Kasirye ku misango gy’okusangibwa ne Pisito ey’ekicupuli ssaako ne sitiika za People’s Government enjigirire.
Kyambadde nga mutuuze we Lugala Masanafu mu Divizoni y’e Rubaga era bamukwattidde Wandegeya mu kikwekweeto kya Poliisi, okukwata emmotoka zonna eziri mu kutambula nga tezikirizibwa mu kiseera kino olw’obutaba na sitiika.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, Kyambadde asaangiddwa ne Densite y’amaggye ssaako ne ttiiyagaasi akakebe akamu era mu kwewozaako, agambye nti abadde atwalira Ssaabaminista buyambi okuwa abantu abali mu bwetaavu mu kiseera kino ekya Kolona.
Mu makaage, musangiddwamu ekyambalo ekyefananyirizaako eky’amaggye, magalo esala ebyuma n’ennyondo era mu kiseera kino, akuumibwa ku poliisi y’e Wandegeya.