Pasita Augustine Yiga amanyikiddwa nga Abizaayo kabuze kata akulukuse amaziga, omulamuzi Timothy Lumunye bwagaanye okumuyimbula.

Pasita Yiga myaka 43 owa Revival Christian Church e Kawaala ali ku misango gy’okwenyigira ku bikolwa, ebiyinza okusasasanya endwadde era yasindikibwa dda ku limanda mu kkomera lye Kitalya mu disitulikiti y’e Wakiso.

Wabula bannamateeka be, bateekayo okusaba kwe okweyimirirwa, nga bagamba nti alina abaana munaana (8) ab’okulabirira, mulwadde wa Sukkaali nga yetaaga obujanjabi ate musajja musumba ng’alina endiga ez’okusumba.

Enkya ya leero bw’asimbiddwa mu kkooti ya Mwanga 11 e Mmengo, omulamuzi Lumunye agaanye okuyimbula Pasita Yiga bw’ategezezza nti alemeddwa okumatizza kkooti nti mulwadde wa sukkaali.

Mungeri y’emu omulamuzi agambye nti olw’embeera eri mu ggwanga eya Kolona, kisingako Pasita Yiga okusigala mu kkomera okutuusa nga 5, omwezi ogujja Ogwokutaano.

Ate oludda oluwaabi, lugamba nti n’abajulizi Pasita Yiga beyaleeta mu kkooti si bamuzinzi nti basobola okumusindikiriza okudda mu kkooti nga bonna bakyali bapasita bato mu kkanisa ye.

Kigambibwa nga 27, omwezi oguwedde Ogwokusatu, Pasita Yiga ng’asinzira mu kkanisa ye, yategeeza nti Uganda temuli ‘CoronaVirus’ era Gavumenti egezaako kuwudisa bannansi.