Poliisi y’e Kanungu ekutte abantu bataano (5) abaludde nga basala ensalo, okuyingira eggwanga erya DR Congo, nga bagenze okulimirayo.
Kinajjukirwa nti omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, yakirizza abalimi okusigala nga balima wabula abalimi 5 ekibakwasizza, babadde basala ensalo mu panya ne bayingira mu ggwanga lya Congo nga bagenda mu nnimiro zaabwe.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Polly Namaye, ensalo zaggalwa n’ekigendererwa eky’obutakirizza omuntu yenna kufuluma nakuyingira ggwanga, okutangira Kolona okusasaana.
Namaye mu kwogerako eri bannamawulire ku Media Centre mu Kampala, abikudde ekyama nti n’okutambula okuva mu disitulikiti emu okudda mu ndala, n’abalimi tebakirizibwa.