Ekitongole ekikola ku mutindo gwe ddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority kikwasizza Poliisi omusajja eyakwattiddwa ku misango gy’okulimba nti yavumbudde eddagala eriwonya ekirwadde ki Covid-19 ssaako ne mukenenya.
Robert Mujumbi nga mutuuze e Bweyogerere agamba nti yasobodde okweyambisa Kkampuni ye eya Biobert Research Group Limited okuzuula eddagala ng’abadde anoonya ssente okuyamba eggwanga.
Mu makaage e Bweyogerere gy’abadde asinzira okunoonya eddagala era akwattiddwa okumunonyerezaako.
Okusinzira ku muwandiisi ow’enkalakalira mu kitongole kya National Drug Authority Dr. David Nahamya, Mujumbi yayitibwa okutangaaza ku ddagala lye yafulumizza, lyagamba nti liwonya ‘Corona Virus’ ne Siriimu nagaana okutuusa lwe yakwattiddwa.
Dr. Nahamya agamba nti omuntu yenna okulanga n’okutunda eddagala balina okulyekenenya, okutangira abantu nga Mujumbi, abayinza okufulumya eddagala ery’obulabe ku bulamu bw’abantu.