Poliisi mu Kampala ekutte omukozi w’ekitongole ekinoonyereza ku misango ekya Internal Security Organisation (ISO) Steven Ariong ku misango gy’okutunda Sitiika, okukiriza emmotoka okutambula mu kiseera ekya Kalantini.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, Ariong abadde yekobaana n’abantu ab’enjawulo omuli ne munnansi wa Pakisitaani omusuubuzi w’omu Kampala Sabil Ali okutunda Sitiika wakati w’emitwalo 15 na 30.
Enanga agamba nti sitiika ezitundibwa njigirire nga zifanagana ezaafulumizibwa ekitongole ky’emirimu ekikulemberwa Gen. Katumba Wamala.
Enanga agamba nti n’okutandiika olunnaku olw’aleero, emmotoka yonna ng’eriko Sitiika enjigirire egenda kukwattibwa ne ddereeva.