Kyaddaki ebyama bizuuse lwaki munnamawulire Joseph Sabiiti yasuulawo NBS TV omwaka oguwedde ogwa 2019 kyokka mu kiseera kino amawulire galaga nti yafunye omulimu omulala mu Vision Group ekulemberwa Robert Kabushenga.
Sabiiti yasuulawo NBS mu September wa 2019 oluvanyuma lw’okufuna omulimu omulala mu kibiina ky’obwannakyewa ekya Action Aid ng’omwogezi w’ekibiina.
Wabula omu ku bannamawulire agaanye okwatuukiriza erinnya lye ku NBS TV agambye nti ensonga y’emisaala y’emu ku nsonga lwaki abakozi sibasanyufu ku mirimu.
Agamba nti abakozi abamu bafuna emisaala mitono nnyo ate abamu bafuna emisaala emisava ate nga tebakola nnyo.

Mungeri y’emu agambye nti waliwo abakozi abapya n’okusingira ddala abaava ku TV endala omuli NTV abafuna omusaala omusava ate nga abakozi abalala tewali kubongeza ssente.
Bw’abadde awayamu n’omusasi waffe era agambye nti Sabiiti munnamawulire mulungi kyokka abakulu balemwa okumuwa ssente ze yali ayagala era y’emu ku nsonga lwaki yasuulawo omulimu gwa NBS ku lwa Action Aid.
Kigambibwa Sabiiti yafunye omulimu omulala mu Vision Group ku Urban TV era mbu yawereddwa Pulogulamu ‘Check Point’ okugikubiriza.
Agava mu nsonda ezesigika galaga nti Kabushenga yawadde Sabiiti omusaala omusavu, okumukkirizisa okudda ku TV kuba yali alangiridde nti awumudde obw’amawulire oluvanyuma lw’okwegatta ku Action Aids.